
Ssente zekibiina kya NRM eri ba ssentebbe be byalo bannakibiina zitabudde abe Buvuma.
Bano bavudde mu mbeera nebalwanagana nga balumiriza ssentebbe Herbert Mubiru okuba mbu ssi wa NRM era nebamugaana okufuna ku ssente zino.
Olutalo lubadde ku kyalo Lunyanja ekisangibwa mu Town Council ye Buvuma, nga ssente oluvanyuma zikwasiddwa omumyuka we.
Yye ssentebbe Herbert Mubiru yewolerezza nti byebamulumiriza ssi bituufu, nategeeza nti okwawukana kwabwe kuva ku bamu batawagira mu kamyufu.
Kati Betty Nakyobe avudde mu State House y’etonze kulwa NRM olwa ssente zino engeri gyezibatabuddemu.