Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Luuka eriko omuvubuka owemyaka 14 gwekutte nga kigambibwa yafumise munne namutta olwa chapati.
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Luuka eriko omuvubuka owemyaka 14 gwekutte nga kigambibwa yafumise munne namutta olwa chapati.
Omukwate amannya ge agatatukiriziddwa kigamibwa yakidde mukwane gwe owemyaka 17 namutunga ebisso mu kifuba ebimusse, ngoluyombo lwavudde ku kiffo buli omu wabadde akayanira nokukolera nga basiika chapatti.
Bino bibadde mu Kabuga ke Kiyunga mu district ye Luuka.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga North, Michael Kasadha omugenzi amumenye nga Brayan Kamadi.
Omukwate aggudwako omusango gwa butemu nga kati akumibwa ku poliisi ye Nakabugu.