Bya Abubaker Kirunda
Gwebatereza okubba pikipiki, ekibinja kyabatuuze kimukakanyeko nebamukuba okutuuka okumutta.
Bino bibadde ku kyalo Namalele mu ggombolola ye Buwenge mu district ye Jinja.
Atwala poliisi yomu kitundu, Sadiq Thabo Muhammad ategezezza nti batandise okunonyereza.
Omugenzi tanategerekeka mannya, nga tasangiddwako yadde ekiwandiiko ekimukwatako.
Ono okumuyikira ngenjubi, alabiddwa ngagezaako okupakula pikipiki abadde okumpi awo mu kibuga.
Wabula poliisi erabudde ku bikolwa ebyokutwalira amateeka mu ngalo.