Bya Damali Mukhaye
Poliisi ye Jinja eriko omukazi ow’emyaka 33 gwekutte lwakuyiira omuserikale abadde agenze okumukwata amazzi agookya.
Omukwate ategerekese nga Fazira Nangobi omutuuze ku kyalo Budumbiri mu tawuni kanso ye Bugembe .
Atwala poliisi ye Bugembe Sam Talemwa agamba omukazi ono ayiiridde Mebra Mpabulungi owa poliisi ye Bugembe nga agenze okumukwata.
Wabula ye omukyala ono agamba essimu teyagibbye yagiwambye ku Musajja amanyiddwa nga Musana eyagaanye okumusasula emitwalo gye 20000 oluvanyuma lw’okumuguza akaboozi.
Poliisi egamba omukazi ono wakugulwako gwakulumya muserikale wa poliisi.