Ab’ekibiina kya DP bawandikidde loodimeea Erias Lukwago nga bamusaba yesimbewo ku tiketi ya DP.
Lukwago yabadde amaze okwewandiisa ng’atalina kibiina mu kakiiko akalondesa
Kati omwogezi wa DP, Paul Kenneth Kakande agambye nti baatudde nebakikakasa nti Lukwago ye mutuufu ow’okuwagira kubanga alina n’obuwagizi mu bantu
Bano bagamba nti ssinga Lukwago takima tiketi eno,bakudda ku Isa Kikungwe .