Ba Imaam abasoba mu 600 basisinkanye akulira abakozi mu Kibuga Jeniffer Musisi okubaganya ebilowoozo engeri yokulakulanyamu abasiramu
Akualira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi asabye ba imam abeegattira mu kibina kyabwe ekya Islamic Preachers and Imams okukozessa emiwaatwa egiriwo benyigire mu byenkulakulana .
Wano Musisi awadde ebibina by’abasiramu mu division 5 obukadde 25 bazongere mu SACCO zaabwe bekulakulanye ezitaliko magoba.
Abasiramu abakulembeddwaamu Pulezidenti waabwe Sheik Nuhu Muzata bakozesezza omukisa guno okusaba Musisi okuddukanya ekibuga ng’agondera amateeka g’enzirikiriza ezenjawulo naddala ezabasiramu .