Bya Malikh Fahad
Abakiise ku lukiiko lwa district ye Masaka bavudde mu mbeera nebatandika okubanja nti badibwemu lwaki tebakyasasulwa nsako yaabwe.
Bano ababadde bakulembeddwamu Bruno Mugumya akirira abaliko obulemu, bagambye nti bamaze entuula 3 nga tebabawa yadde omunwe gwe nnusu.
Basinzidde mu lutuulwa olubadde lukubirizibwa sipiika Achilles Mawanda, nebazikubamu makiikakiika okwaka mu maaso gabakulu.
Bano balina okuweebwa emitwalo 17 buli lutuula.
Wabula nampala wabakozi ba gavumenti e Masaka Nathan Lujumwa, agambye nti bakola kyonna ekisoboka bano okubawa ensako yaabwe.