Bya Ivan Ssenabulya
Ba kanyama wansi wekibiina kya Umbrella for Uganda Bouncers Association, basuubizza okukuuma obutebenkevu, ku bivvulu, ebyokujaguza olunnaku lwabakyala, ebyategekeddwa banaffe aba Spark TV, nga bajaguza emyaka 3.
Ebivvulu bino bigenda kuberewo mu mwezi gwokusattu, wabula aba UBBA bebamu ku begatidde awamu okutekateeka.
Akulira ekitongole Tonny Ssempijja agambye nti tebasubira buzibu bwonna, wabula abantu bajje banyumirwe.
Ebivvulu bino byakukukulungula ennaku 3, okutandikira e Kavumba nga 8, e Luweero 9 ne Masaka ngennaku zomwezi 10 mu March.