Bya Tom Angurin
Ba engineer ba kuno abaali batandika ku mulimu gwokukuba plani yolutindo lwe Jinja oluppya bakukulumidde gavumenti, olwokubaleka ebbalu, bwekyatuuse ku kuzimba olutindo luno.
Bino byebimu ku byabadde mu ttabameruka waba Engieera owomulundi ogwokutaano, the 5th Annual Engineers’ Forum eyatudde mu Kampala.
Michael Odongo, ssentebbe owa Engineers’ Registration Board agambye nti eyali minister webyenguudo mu kiseera ekyo Engineer John Nasasira yakulemberamu ekibinja kyabalugu nebagenda nebekebejja olutindo olukadde nebakuzuula nti lulimu enyafa.
Agamba nti ensonga bwezatuuka ewomukulembeze we gwanga, babalagira batandike ku mulimu wabula oluvanyuma besanga babasudde ettale, nga bakozesezza bagwira.