Skip to content Skip to footer

Dr. Kawanga Ssemogerere azirikidde mu kkanisa

Bya Ritah Kemigisa

Eyali Ssenkaggale wekibiina kya Democratic Party Owek. Paul Kawanga Semogerere azirise bwabadde mu kusaba kwokujaguza  olunnaku lwe ssaza lye Kampala ku lutikko e Rubaga.

Mukyala wa Ssimwogerere kitegezeddwa nti ate naye azirise bwabadde alwana okufuluma ekkanisa, okumanya wa omwami we gyabadde addusiddwa, oluvanyuma lwokugwa.

Munamawulire wa banaffe aba NTV Solomon Kaweesa bino, okubaawo abadde Rubaga, era yatukaksizza ku bibaddewo.

Kati amawulire gatufunye okuva mu kibiina kya DP, Owek. Kawanga Ssemogerere ne mukyala we bali mu ddwaliro e Rubaga bajanjabibwa.

Leave a comment

0.0/5