Skip to content Skip to footer

Baasi ezidda e Kenya ziyimiriziddwa

no buses to kenya

Nga Bannakenya bakyagenda mu maaso n’okulonda ,baasi ezigenda mu ggwanga lino ziyimiriziddwa okusabaaza abantu.

kino kirese abantu abawera naddala abo abagenda okusuubula nga bataataganyiziddwa

KKampuni nga Kampala coach, Elgon Flyer, Gaaga ne Kaliita zonna tezisabaaza bantu mu kadde kano

Maneja wa Kaliita, Abdu Alodo ,bakuddamu okukola nga bamaze okukakasa embeera mu ggwanga lino

 

Bbyo ebyokwerinda binywezeddwa e Mombasa oluvanyuma lw’okuttibwa kw’abantu 4 nga bonna bapoliisi.

Ssenkaggale wa poliisi, David Kimaiyo akakasizza okuttibwa kw’abantu bano n’agattako nti waliwo ekibinja ky’abantu abasoba mu 2000 abalumbye poliisi nebatta abapoliisi bano.

 

 

 

 

 

 

 

Leave a comment

0.0/5