Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Iganga eriko abantu 2 begalidde, abagambibwa nti babadde n’omukono mu butemu obwakoleddwa ku mukazi owemyaka 30.
Abakwate poliisi egamba nti bebamu ku kibinja kyabazigu, abasobezza ku mukyala Amina Namulondo, noluvanyuma omulambo gwe nebagusuula ku kyalo, Nakavule B gyegwazuliddwa olunnaku lwe ggulo.
Omugenzi yabadde mutuuze ku kyalo Bukyaye mu gombolola ye Nakalama e Iganga.
Omuddumizi wa apoliisi e Iganga David Ndaula agambye nti abakwate, bagenda kuyambako mu kunonyereza.