Bya Abubaker Kirunda
Abantu babiri bakwatiddwa ekitongole kyebye mmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority lwakunoga mwanyie ento.
Abakwate kuliko Charles Kigenyi owemyaka 35 omutuuze we Nnondwe ne Swaliki Balikowa owemyaka 40 omutuuze we Bunalwenyi mu ggombolola ye Makutu mu distrct ye Iganga.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa aba UCDA mu biundu bya Busoga, ekibadde kikulembeddwamu Abed Kisambira.
Kisambira ategeeza nti bano babaddenga banoga emwanyi ento bwe totololo, ezakiragala nebazikaza okusobola okufunamu ensimbi ezamangu.
Agamba nti kino kitta omutindo gwe mwanyi.