Skip to content Skip to footer

Omubaka awonye okufa bw’atomedde ente

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka we ssaza lya Kiraka North mu palamenti Anthony Akol asimatuse okufiira mu kabenje, mmotoka mwabadde atambulira bwetomedde ente.

Ono kati aleteddwa mu ddwaliro lya IHK wano mu Kampala okuva mu ddwaliro e Kiryandong, gyebadde.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Albertine Julius Hakiza akabenje kano kaabadde ku kyalo Wakisoni ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu highway.

Akabenje kano kaaguddewo mu kiro, ngono yabadde mu mmotoka ye kika kya Prado TX.

Yye dereva we agambye nti tali mu mbeera nnungi.

Leave a comment

0.0/5