Bya Prosy Kisakye
Poliisi eriko abakulembeze bekibiina kya UYD 3 bekutte, ku wofiisi zaabwe mu Kampala, nga bano kigambibwa nti babadde nentekateeka okugenda ku poliizi okubaako ebbaluwa gyebatwala eri omudumizi wa poliisi Kampala nemiriraano.
Mu lukungaana lwabanamawulire lwebatuzizza nga tebanakwatibwa, akolanga ssabawandiisi waba musaayi muto bano Robert Mugambwa, agambye nti bemulugunya kungeri poliisi gyebalingirizaamu.
Ono agambye nti okuviira ddala ku Bbalaza poliisi ebaddenga, ejja ku wofiisi zaabwe.
Kati mu bbaluwa gyebawandikidde omudumizi wa polisi mu Kampala nemiriraano, Moses Kafeero, gyebabadde batwala bagamba nti babadde bagala okumanya lwaki poliisi yebulunguludde wofiisi zaabwe.
Ng’ojjeeko Robert Mugambwa, abalala abakwatiddwa kuliko Radison Kijjambu omumyka wa presidenti wa UYD mu Buganda ne Denis Tuhairwe ssbawakunzi wekibiina.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango, agambye nti bano babadde bgala kwekalakaasa mungeri meneya amateeka.