Skip to content Skip to footer

Bobi Wine atolose ku poliisi

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ali mu district ye Bugiri.

Ono alabiddwako nga yetabye mu kuziika abadde ssentebbe wa district ye Bugiri Siraje Lyavala, eyafudde olunnaku lwe ggulo.

Bobi Wine kigambibwa nti yemuludde okuva mu maka ge mu budde bwekiro, okuva ku poliisi webadde emukumira.

Poliisi yakwata Bobi Wine ku Bbalaza oluvanyuma lwokusazaamu ebivvulu bye ebya Paasika, ng’egamba nti abategesi baali tebagoberedde mateeka.

Kati poliisi egamba nti kino kyagendereddwamu okumutangira okumenya amateeka.

Wabula gyebuvuddeko poliisi omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyago, yagaanye okubaako kyayogera kunsonga eno.

Leave a comment

0.0/5