bya prossy kisakye
poliisi ekakkasiza nti abantu 2 bafudde kw’abo 29 abatwaliddwa mu ddwaliro e mulago nga bali ku bisago byamaanyi, oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje ku bitaala bya kira olunaku lweggulo.
Akabenje kavudde ku muvuzi wa lukululana okulemererwa okusiba nayingirira emotoka endala 8 ne pikipiki 2
Omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Patrick onyango akakasiza nti babiri bafiiridde mu ddwaliro era nga ku bafudde ku badeko jude ddamulira ne philipa musimenta.