Bya Moses Ndaye, Abayizi abasoma obwa dokita bayimiriza ak’endiimo kaabwe ke babadde bategese olwaleero.
Kino kidiridde palamenti okubasuubiza okukola kunsonga zaabwe
Omwezi oguwedde abayizi bano okuva mu malwaliro 35 okwetoloola eggwanga bateeka wansi ebikola nga bawakanya ekyokusasulwa obubi nokusula obubi
Kati akulira ekibiina ki Federation of Uganda medical intern’s welfare Dr. Herbert Luswaata ategeezeza nti basazeewo okudda ku mirimu oluvanyuma lwa palamenti okutegeeza nga bwegenda okukola kunsonga zaabwe.
Kigambibwa nti 75% ku mirimu egikolebwa mu malwaliro ga govt gikolebwa bayizi bano kyokka ng’ensasula mbi