Skip to content Skip to footer

Ab’oludda oluvuganya bawereddwa amagezi

Bya Prossy Kisakye, Eyaliko omubaka wa Makindye East mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Mike Mabike asabye ab’oludda oluvuganya okuyigira ku kulonda okwabadde mu disitulikiti ye Hoima ne Kaabong bwebaba nga bakutuuka mu bukulembeze

 

Nga ayogerako naffe Mabike anyonyodde nti okudamu okulonda okwali mu disitulikiti zombie ab’oludda oluvuganya balaga obunafu bungi ne balemererwa nokumanya ekyokukola okukuuma akalulu kaabwe.

Ayongerako nti teri kibiina yadde abekisinde kyonna abali bakoze enkola ennegobererwa mu kukuuma akalulu kano okulaba nti tekabbibwa.

Kati alaze obwetaavu okuba nomukago ogubagatta nga gulabika bulungi obuvunanyizibwa bwa buli kibiina mu lugendo lwenkyukakyuka

Mungeri yemu Mabike alaze obwenyamivu olw’ebibiina byo bufuzi ku ludda oluvuganya okulaga nti si beetegevu kwegata ku mukago gwa DP Bloc songa ate gwalambika dda buli kimu ekirina okugobererwa mu lugendo lwokukyusa obuyinza mu kalulu ka 2021.

 

Leave a comment

0.0/5