Bya Damalie Mukhaye
Mayor we Nakawa Ronald Balimwezo asabye gavumenti okusaawa ebisambu nebisko, ebyamera ku ttaka lye Naguru-Nakawa kwebagoba abatuuze mu mwaka gwa 2008.
Eno gavumenti yali yalaga entekateeka okuzimba, amayumba agomulembe nokuteeka ekibuga gagadde mu kitundu kino, wabula ekitanakolebwa.
Wabula Balimwezo, alaze okutya nti ebiko bimeze mu kitundu ekyo, ekiteeka obulamu bwabantu mu kabi naddala mu nsonga zebyokwerinda.