Bya Prosy Kisakye
Ba kansala ku mu lukiiko lwa division ye Nakawa bakanyizza, okujjamu meeya waabwe Ronald Balimwezo obwesige, olw’okukozesa obubi wofiisi ye.
Bino babituseeko mu lutuula lwakakaiiko akatekebwawo lOrd myor wa Kampala Erias Lukwago, okuwabula ku mitendera gyokulonda obukiiko bwebye ttaka.
Ba kansala nga bakulembeddwamu owe Naguru 1 Baligo Simon bagabye nti betaaga emikono gyabakiise 22 okutekayo ensonga yaabwe.
Kinajjukirwa nti kanso yagaana okuyisa akakaiiko kebye ttaka, nga bagamba nti abantu Balimwezo beyalonda ate babbi bat taka.
Wabula Balimwezo agambye nti ku nsonga ebagaulumbya emitwe eyakakiiko kebye ttaka yagoberera emitendera gyonna.