Bya Samuel ssebuliba.
E KENYA: omukulembeze we gwanga Uhuru Kenyatta akakasizza nga bwagenda okufuba okulaba nga ateeka omulaka ku ky’okutondawo emirimo mu naku 100 zino ezisooka.
Bino okutuukibwako kidiriidde ba Minister ba Kenya bonna okwevumba akafubo ak’enyawulo okumala ebanga nebakaanye ku kyebazaako.
Bano mungeri yeemu basazeewo nti mu mwezi gw’okusatu mu mwaka 2018 government yakutema evuunike ely’okuzimba amayumba aganaapangisibwa bamufuna mpola.