
Poliisi ye Kabale eriko omuvubuka ow’emyaka 20 gwekutte lwabusiyazi.
Kigambibwa nti Naboth Mujulizi omutuuze ku kyalo Mukansiru y’akwatiddwa nga ali ku kalenzi akatanetuuka akavuga olupanka.
Akalenzi kano kagamba nti kaabadde katumiddwa ku dduuka mu katawuni akali okumpi, omuvubuka n’akazindukiriza nga kaddayo eka n’agyayo akambe n’akatiisa okukasalasala singa kakuba enduulu olwo n’akakanako n’akatuusako ebikolwa bya sosdome ne gomola.
Omulenzi ono mu bulumi obwekitalo olwazze ewaka nalonkoma Mujulizi poliisi n’emukwata.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate akakasizza okukwatibwa kwa Mujurizi wabula n’asaba abazadde obutatuma baana bato ku maduuka bokka kubanga kyabulabe.