Bya Sadat Mbogo
Abatuuze ababadde abakaawu ku kyalo Kaalo mu gombolola y’e Bulo mu district y’e Butambala bakkidde omusajja owemyaka 37 nebamutta oluvannyuma lw’okumusanga n’obumyu 6, obubadde bugambibw aokubeera obubbe.
Omugenzi ategerekese nga ye Herman Mukwaya omutuuze mu district ye Kayunga mu Bugerere.
Okutibwa kigambibwa nti yasangiddwa lubona ngatwala obumyu bw’omu ku batuuze, nebatandikirawo okumukuba okutuusa lwassizza ogwenkomerero.
Oluvanyuma poliisi etuuse neggyawo omulambo, nebagutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe ngokunonyereza kugenda mu maaso.