Bya Malikh Fahad
Poliisi mu gombolola ye Matete mu district ye Sembabule etandise okunonyereza, ku batamanya ngamba abalumbye ekyalo nebabba abatuuze obutabalekera kantu.
Obubbi buno bubadde ku kyalo Kitagabana ngokusinga babbye birime ngemwanyi, ebisolo byabatuuze nebintu eboiralala ebikalu.
Abamu ku bakoseddwa kubaddeko Paul Kaddu, Bosco Ssekanjako nabalala.
Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagavu bwe Masaka Paul Kangave akaksizza obubbi buno, era agambye nti bakutteko omuntu omu agenda okubayambako mu kunonyereza.