Bya Shamim Nateebwa
Poliisi y’e Nabweru ekutte omukazi agambibwa okuyonsanga abaana ba baliraanwa be, atenga alina akawuka ka mukenenya.
Omukwate ye Sharon Muhindo nga mutuuze w’e Nabweru South, nga yakwatiddwa oluvannyuma lw’abatuuze okumwemulugunyako nga bwabadde aludde ng’ayonsa abaana baabwe.
Kiddiridde okumusanga lubona ng’aliko omwana wa munne gwayonsa.
Ekisinze okuggya abatuuze mu mbeera, kwe kutwala omu ku baana beyabadde ayonsa abasawo nebamussa ku mpeke eziweweeza sirimu, nga nakyo yakikola ngabazadde babaana bano tebamanyi.
Abatuuze boogedde ku Muhindo ng’omuntu ow’ekisa ng’ayagala ennyo abaana abato, era babaddenga bamulekera abaana baabwe.
Shakirah Tushemeirirwe maama w’omwana gweyalwaza namauteeka neku ddagala alaajanidde aboobuyinza okuyingira mu nsonga eno.
Dorothy Nankya nga ye ssentebe w’ekitundu avumiridde ekikolwa kino era nasalawo Muhindo agobwe ku kyalo.
Kati omumyuka womwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owesigyire, akakasizza okukwatibwa kwa Muhindo ngagambye nti waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.