Skip to content Skip to footer

Bamusse lwakubba mwanyi

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze abakaawu bakidde omusajja owemyaka 40 nebamukuba okutuka okumutta, nga bamulumiriza okubba emwanyi.

Bino bibadde ku kyalo Nakawa mu town council ye Bowa mu district ye Bugiri.

Omugenzi ategerekese nga Simon Pamba nga kigambibwa nti abadde aliko kiro ze mwanyi 15 zeyabbye okuva ku mutuuze omu ku kyalo kyekimu.

Akolanga omuddumizi wa poliisi mu district ye Bugiri, Godfrey Musimami akaksizza ettemu lino, nalabula ku ktwalira amateeka mu ngalo.

Kkwo okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5