Skip to content Skip to footer

Gwebatebereza okubba ente bamusse

Bya Malikh Fahad

Police mu district ye Kalungu etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebatta omusajja gwebabadde batebereza okubba ente.

Omugenzi poliisi emumenye nga Asuman Mutumba omutuuze we Birongo mu ggombolola ye Lwabenge, mu district ye Kalungu.

Kigambibwa nti Mutumba ono bamuguddeko lubona mu kiraalo kya Simon Peter Kalanzi ngabba ente, abatuuze nebamutandikako okumukuba okutuusa lwasizza ogwenkomerero.

Lameck Kigozi ayogera poliisi mu kitundu ategezeza nti omugenzi bamusanzeemu ekitti mu mumiro, ekyamufumitiddwa.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika okwekebejjebwa nga nokunonyererza bwekugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5