KYOTERA
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde ku kyalo Kasasa mu district ye Kyotera abatamanya ngamba bwebase omusajja muk iro ekikeeseza olw’aleero nga tebaakomye okwo omulambo nebagusuula ku police.
Omusajja ono tanamanyika manya ge, wabula ngasangiddwa nga yattidwa mu bukambwe, omulambo.
Musa Kayongo, aduumira police ye Kyotera agambye nti mu bwangu dala bakozesezza embwa ya police era okukakana ngebatuusiza ku nyumba omugambibwa okuba nti omuntu ono mweyatidwa.
Wabula enyumba eno esangiddwa nga nkalu, nga kiteberezebwa nti nyiniyo olwasse omusajja ono naduka.
Ettemu lino kigambibwa lyekuusa kuba kijambiya abalumbye ebyalo 2 e Masaka okuli Kabonera A ne B nebatta abantu 2 nokulumya abalala 7.