Bya Magembe Ssabiiti
Police e Mubende eli kumuyiggo gwa battemu abawambye omukazi mu kiro ekikesezza leero nebamusobyako n’oluvanyuma nebamutta.
Ettemu lino libadde ku kyalo Luswa mu gombolola ye Myanzi e Mubende nga atiddwa ye Namuyomba-Robina atemera mu gy’obukulu 29 ngomulambo gwe gusangiddwa okumpi n’ekubo.
Akulira bamemba ba police e Mubende Swalik Dauda ategezezza nga police bwetandiise okunonyereza abenyigidde mu ttemu lino.