Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Masaka nga n’abalala baddusiddwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi.
Akabenje kano kaguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero nga era abagenzi bategerekese nga Abdukarimu Mbogga omutuuze w Bukomansimbi, Pauline Kabazoba, James Katabazi nga owokuna tanategerekeka.
Akabenje kano kaagudde wali e Lwera oluvanyuma lw’emmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Premio UAB 719B okutomeragana ne Kamunye namba UAW 045U ebadde eva e Kampala nga edda Masaka.
Okusinziira ku beerabiddeko n’agabwe, dereeva wa Premio kati aliira ku nsiko y’avuddeko akabenje bw’abadde agezaako okuyisa ku loole nekimusindika mu kamunye.
Aduumira poliisi y’ebidduka mu bukiika ddyo bwa Masaka James Tebaijuka ategezezza nga bwebali mu kuwenja badereva b’emmotoka zombie abaabuzewo era n’ategeeza nga akabenje bwekavudde ku kuvugisa ekimama.