Abantu bana bafiiridde mu kabenje n’abalala 10 nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Kabenje kano kagudde ku kyaalo Kalembe ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende
Taxi namba UAW 780Q ebadde ejjudde abasaabaze eyabise omupiira n’egwa ekigwo.
Atwala poliisi y’ebidduka e Mubende Johnson Yeheyo ategeezezza nti abafudde kubaddeko abakyala babiri kyokka nga tebannategerekeka mannya.
Dereeva wa Taxi eno ategerekese nga Emmanuel Alinaitwe naye afiiriddewo
Poliisi akabenje kano akatadde ku ndiima