Bya samuel Ssebuliba.
Mu Kenya banamateea abeegattira mu kibiina ekya law society of Kenya bakungaanide wali ku freedom corner, nga wano webagenda okuva okutambula nga boolekera ekitebe ky’omubaka wa Uganda atuula mu Kenya ababuulire ekikwasa Kyagulanyi.
Charles Kanjama nga ono ye ssentebe w’ekibiina kino agamba nti kino bakikoze okwegatta kubanamateeka aba Uganda abegattira mu Uganda law society, okulaba nga balwanyisa ebikolwa eby’okudibaga edembe ly’obutu, ko n’okujweteka emisango ku bantu.
Wabula ono agambye nti kuno kugenda kubeera kwekalakaasa kwa mirembe, era nga bbo baagala kutuusa doboozi lyabwe.