Bya Ben Jumbe .
Abaserikale abaabuli kika basazeeko amaka g’abantu ab’enjawulo okuli Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, ayali akulira FDC Dr Col kiiza Besigye, Ingrid Tulinawe , munamateeka Medrd Lubega Sseggona n’abalala.
Kinajukirwa nti bano bebamu kubabade balina okugenda e Gulu okubaawo nga omubaka we Kyadondo Robert Kyagulanyi avunaanibwa mu kooti y’amajje.
Twogedeko ne Lukwago nagamba nti bano baamulumbye kiro , era nga abade muntekateeka okugenda e Gulu kubanga yomu kubanamateeka abalina okubaayo, wabula nga eky’omukisa omulungi, wali tiimu okuli Asuman Basalirwa ne Ssegonna bbo abaasuze e Gulu.
Tugezezaako okwogerako n’ayogerera police mu Kampala Luke owoyesigyire nattugamba nti ebigenda mu maaso naye tabimanyi.