
Poliisi mu gomboloola ye Kitenga e Mubende ekoze ekikwekweto mwekwatidde ababbi be mbuzi mumwenda (9) ababadde bafuuse ekizibu mu kitundu mu kubba ebisolo bya batuuze nga babitwala okubiwasamu abakazi.
Ababbi bano bakwatiddwa muluka gwe Bugalya mu gombolora ye Kitenga e Mubende n’embuzi mwenda z’ebabadde bakukusa okuzitwala mu katare mu kibuga kye Mubende ezimu okuziwasaamu abakazi.
Abatuuze nga bakulembedwamu ssentebe w’ekyalo Bugalya Phillipo Tumutendereze bategezeezza nga bwebatakyayina webasobola ku lundira bisolo olw’abavubuuka ababbi abasusse mu kitundu kino abamazewo ebisolo byabwe wamu n’ente zaabwe.
Atwala poliisi post ye Bugalya Nkwangu David akakasizza okukwatibwa kwa bavubuuka bano era asabye abatuuze n’obukiiko bwebyaalo obw’eby’okwerinda okukolagana obulungi ne poliisi okusobola okumalawo obubbi buno.