Bya Samuel Ssebuliba.
Banamateeka b’omubaka we Mityana Francis Zaake banakuwalidde ekya Police okuvumbagira Muntu waabwe amangu dala nga yakatonya ku kisaawe entebe okukakana nga emututte gy’akiikirira e Mityana.
Nga bwekyakolebwa ku madda ga Robert Kyagukanyi, ono olutonye mu gwanga Police n’emuyoola, okukakana nga emutute e Mityana nga eno emotoka za police bwezimuwerekerako.
Twogedeko nemunamateeka wa Zaake nga ono ye Asuman Basalirwa naagamba nti ekikoleddwa kibadde tekyetagisa kubanga tewabadeewo kasambatuko konna akatuusizza police okupapa bwetyo.