Bya Samuel Ssebuliba.
Wetwogerera nga omubaka we Mityana Francis Zaake amaze okutuusibwa e Mityana gyakikiirira oluvanyuma lwokudda mu gwanga okuva mu India gyabadde okumala enaku 40.
Nga bwekyakolebwa ku madda ga Robert Kyagukanyi, ono olutonye mu gwanga Police nemuyoola, okukakana nga emutute e Mityana.
Ono awerekedwako police patrol eziwerera dala 4, nga zonna zijjudde abaserika.
Ono nga tanatonye mu gwanga aliko obubaka bweyawereza bannayuganda n’agamba nti tebagwana kukozesa maanyi, kubanga kino kiyinza okuviirako okufa kw’abantu.