
Ssenkulu wa banka enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ategezezza nga Banka enkulu bweyimirizza okugula zi doola kubanga mpaawo kyekitaasizza ku kunaabuka kwa siringi.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza olwaleero Mutebile ategezezza nga bwebakoze ekisoboka okutaasa siringi okwongera okunabuuka nga bagula doola zino naye mpaawo kikyuuse kubanga bannayuganda batono mu kiseera kino abayingiza doola mu ggwanga.
Banka enkulu okuva mu January etadde doola za Amerika ezisoba mu bukadde 200 mu by’enfuna by’eggwanga wabula tekitasizza siringi kwongera kunabuuka.
Mu kiseera kino doola emu egula siringi 3400 ekibadde kyaludde okulabika.
Abamu ku bannayuganda emitima gyatandise dda okubewanika nga batya nti n’ebbeeyi y’ebintu yandirinya.
Ebimu ku bintu byatandise dda okulinya gamba nga amafuta ekyongedde okutyemula emitima gyabannayuganda