Bannabyabufuzi 10 abavunaanibwa okufuuka ekisekererwa kyaddaaki beyimiriddwa .
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City Hall Moses Nabende.
Ekkumi bano kuliko n’omuyambi wa loodi meeya wa Kampala Deo Mbabazi nga eya beyimiriddwa ku mitwalo 50 buli omi nga ababeyimiridde buli omu akabbe wa kakadde kamu ezitali zabuliwo.
Omulamuzi abalagidde beyanjule mu kkooti nga 10 June okutandika okuwulira omusango gwabwe.
Oludda oluwaabi lurumiriza nti bano nga May 14th 2015 wali ku Nsambya Sharing Hall baakuba olukungaana olumenya amateeka nga era baatataganya emirtembe gy’abaliraanwa.
Olukungaana luno lwali lwakwogerwamu eyali ssenkagale wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye ne loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago.