Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu Kampala ekutte banamwulire 3 abakola n’omukutu gwa BBC.
Abakwate kuliko Kassim Mohammad, Rashid Kaweesa ne Godfrey Bandebye nga bano bakwatiddwa, nomwogezi wa ministry yebyobulamu Vivian Nakaliika.
Kitegezeddwa nti poliisi era olunnaku lwe ggulo, yazinzeeko amaka ga Solomon Sserwanja, e Mukono wabulanga taliimu nebakwatamu mukyala we Nakaliika Sserwanja.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Patrick Onyango, akaksizza okukwatibwa kwabantu bano, wabula nagamba nti esaawa yonna bagenda kuvaayo okutegeeza ekyabakwasizza.
Kati bwabadde ayogerako naffe akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lyabanwmulire, ekya Human Rights Network for Journalists Uganda, Robert Ssempala agambye nti bayungudde banamateeka baabwe, okulondoola eensonga eno.