Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe
Ababaka ba palamenti ku nsonga zabaana bawadde minister omubeezi owebyobulambuzi Godfrey Kiwanda, ssale ssale wa Lwakubiri okusazaamu empaka zeyatagese, ezabakazi bann-Uganda Katonda beyuwnda era abasinga obubina, zebatuumye “Miss Curvy Women” contest.
Minister yatongozza entekateeka eno ngagamba nti egendereddwamu kutumbula byabulambuzi.
Kati bwebabadde baogera ne banamawuwulire omubaka we Kasambya, Gaffa Mbwatekamwa agambye nti bino bigenda kutyoboola eddembe lyabakyala.
Bino webijidde nagabalwanirizi be ddembe lyabakyala nabo bawakanyizza entekateeka eno, era nebabanja nti minister eyakiwomyemu omutwe alekulire.Sound: Mbwatekemwa on curvy contest lug
Ate ssentebbe wababaka bano Bernard Atiku agambye nti entekateeka eno, abategesi balabika tebasoose ku gyekennenya bulungi nga tebanajitongoza.
Kati ne kanisa ya Uganda ebadde yakavaaamu omwasi, nebavumirira empaka zezimu.
Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali, agambye nti kinafuya ekitiibwa kyabakala namaka.