Skip to content Skip to footer

Bannamawulire bakubiddwa e Kololo

Bya Julie Nalwoga ne Benjamin Jumbe

Bannamwulire abwerako banyiga biwundu, oluvanyuma lwabekwerinda okubagwamu e Kololo okubagumbulula.

Bano babadde bakwata mawulire gakulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi bwabadde agenze okuloopa ekiwamba bantu, mu wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddemb lyobuntu.

Abamu ku bakubiddwa kubaddeko aba Nation Media Group Uganda John Cliff Wamala, Irene Abalo ne Micheal Kakumirizi.

Mu kusooka, Robert Kyagulanyi yayambalidde ebitongole ebirwanirirra eddembe lyobuntu, ebisibuka wano mu Uganda nga yebuuza omugaso gwabwe mu kulera eddembe lyabanansi.

Bino yabyogedde gyebuvuddeko, bweyabadde asimbula okwolekera ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekikola ku ddembe lyobuntu mu Kampala.

Kyagulanyi agambye nti talina bwesige mu bitongole bya wano, kubanga basirika nga muzigo mu ttimpa, ku ebityoboola eddembe lyobuntu ebigenda mu maaso mu gwanga.

Eno yensonga lwaki agamba basazeewo, okuddukira mu kibiina kyamawanga amagatte okuloopa ekiwamba bantu.

Agamba nti abawagizi bekibiina 243, bebazze babzuibwawo abebyokwerinda.

Leave a comment

0.0/5