Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu Entebbe yejerezza Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy emisango gyobutemu, wabula nebamusngisa ogwokutta omuyimbi
Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowezey Radio, mu butali bugenderevu.
Omulamuzi abadde mu mitambo gyomusango guno Jane Frances Abodo alamudde nti, omuvunanwa Troy teyali kigendererwa ekyokutta omugenzi kubanga 2 bano basooka na kunyumirwa mu baala mwebaali.
Omulamuzi agambye nti okufa kwa Mowzye kwava ku luyombo olwe bbaala
Wabula era agambye nti ono atekeddwa okusasulira ebikolwa bye, kubanga mu luyombo lwebalina yava mu mbeera nakanyuga munne wansi ekyamuvirako okufa.
Kati omulamuzi waakuwa Troy ekibonerezo ku lunnaku lwokuna.
Omugenzi Radio yafa nga 1 mu February wa 2018.