Skip to content Skip to footer

Bobi Wine agenda kuddukira mu kkooti eya ssemateeka

Bya Ruth Anderah

Okutandika okuwulira omusango gw’omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, nate tekugenze mu maaso oluvanyuma lw’omu ku bavunaanwa obutaberawo.

Kino kidiridde omu kubannamateeka babavunanwa Samuel Muyizzi, okutegeeza kooti nti omuntu we David Lule taliiwo mulwadde.

Kati omulamuzi omusango nagwongezaayo okutukira ddala nga 12 Decemba 2019.

Bobi Wine avunanibwa okujemera ebiragiro bya poliisi, nabantu abalala 4 okuli muganda we Fred Nyanzi, okukuba olukungaana olumenya amateeka bwebaali bawakanya omusolo gwa OTT ku mobile money neku mikutu muyunga bantu.

Bino byaliwo nga 11 July 2018 ku City Square mu Kampala.

Kati amangu ddala Bobi Wine agambye nti agenda kuddukira mu kooti eya ssemateeka okuwakanya ekyokumuwozesa emisango gino.

Bobi Wine agamba nti ssi kyabwenkanya okugenda mu maaso okumuvunaanira mu tteeka lyenkungaana atenga  waliwo banamteeka abaliwakanya edda.

Leave a comment

0.0/5