
Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Lwengo batiisatisizza obuteetaba mu kulonda kwa NRM, lwa mivuyo mu nkalala z’abalonzi.
Bano okwogera bino babadde mu lukungaana oluyitiddwa omubaka omukyala akiikirira disitulikiri Gertrude Nakabira Lubega e Kinoni
Abawagizi bagamba nti enkalala zijjuddeko abantu abatali bawagizi ba NRM, ekintu kyebatasobola kuguminkiriza.
Ye Nakabira agambye nti ategezeddwa abamu ku bakulira okuwandiika ba memba ba NRM ku byalo nti amanya agali ku nkalala gasinga obungi omuwendo gw’abalonzi.