MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akyaliddeko abenganda zabantu abatemuddwa ku kyalo Kabonera okwongera okubagumya olw’ekyo eky’abatuusiddwako.
Ssekandi yenyamidde olw’ettemu erigenda mu maaso n’ategeeza nti babadde bakyalwana nakumalawo ttemu eriri e Ntebe kyokka ate ettemu nerikomawo buto e Masaka bwatyo n’asaba abantu okwekuba mu mutima baleme kutta bantu mu ngeri enkyamu.
Ssekandi ayagala poliisi esitukiremu bunnambiro enonyereze ku butemu buno era naasaba abantu okukuuma emirembe egyaliwo edda.
Yye Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino eky’e Masaka Lameck Kigozi asabye abantu okuzaawo obukuumi obwaliwo edda , nadala nga beekumisa ebiso n’emigo mumayumba gaabwe basobole okw’etasa nga balumbiddwa
Kinajukirwa nti ku lwokubniri lwa sabiiti eno abazigu baalumba ebyalo bibiri okuli Kabonera A ne Kabonera B mu gombolola ya Kabonera mu district ye Masaka nebatta abantu 2.