MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
E Mukono poliisi egamba etandise okunonyereza ku ngeri omulambo gw’omwana ateberezebwa okubeera mu myaka 7 gye gwatuuse mu kampuni ya Kampala Cement Industry esangimbwa e Namataba ku luguddo lwe Jinja.
Omulmbo guno gwasandiddwa mu bitakataka ebikolebwamu cemneti.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi e Mukono
Ibra Batasi agambye nti omulambo gwomwana ono gwasagiddwa abakozi, wabulanga nabo tebamanyi gwazze gutya mu ttaka.
Wabula kiteberezebwa okuba nti gwajira mu ttaka lyebayoola mu bifo ebyenjawulo.