Bannamawulire abatambula ne pulezidenti Museveni mu kuwenja akalulu basimattuse okufiira mu kabenje
Akabenje kano kagudde mu kitoogo kye Kyoja ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu disitulikiti ye Lwengo.
Bannamawulire bano babadde batambulira mu motoka kika kya Prado evudde ku luguudo neyesogga ekitoogo
Atwala poliisi y’ebidduka e Masaka, James Tebaijuka agambye nti bannamawulire mukaaga beebabadde mu motoka eno era nga bonna bajjiddwaayo nga tebafunye bisago biri awo
Museveni abadde yakamala okwogerako eri abantu be Kinoni ky’asinzidde okubasuubiza okukola enguudo.