Gavumenti ng’eyita mu minisitule ekola ku by’amateeka esobodde okununula bannayuganda bataano abaali baggalirwa mu ggwanga lya Mauritania
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ab’ekibiina kya Justice Law and Order Sector, abataano bano ebibonerezo byaabwe bakubimalayo nga bali wano mu kkomera e Luzira
Ekiwandiiko ekibayimbudde kibaddeko n’omukono gw’omukulembeze w’eggwanga.
Abagenda okujjibwa mu Mauritania kuliko Miriam Mpopoya nga bamuvunaana kukusa njaga, Fred Asiimwe Kato eyasibwa amayisa, James Mukasa Kanamwanje naye wa njaga, Francis Igudo Tukei naye wa njaga ne Ann Willus Kayiwa era naye wabiragalalagala
Ab’enganda z’abantu bano beebasooka okugoba ensonga z’okubayimbula era nebajja nga bayambibwaako minisitule ekola ku nsongaz ‘amateeka wano
Bano basuubirwa okutuuka mu ggwanga mu mwezi guno nga guggwaako.