Skip to content Skip to footer

Bano babbira abayizi ebigezo

Examinations begin

Poliisi e Luweero  ekutte abakulira amasomero 2 lwakubbira bayizi bigezo bya kibiina ky’omusanvu. Abakwatidwa kuliko  Hadijah Namatovu  Owa Ntumwa primary school, Ne Siraje  Ssegujja  owa Nsaasi UMEA primary  school. Omwogezi wa poliisi  mu kitundu kino Lameck Kigozi atugambye nti bakizudde nti  omukyala Namatovu yafuna abayizi okuva ku somero lya Katikamu SDA  nebakolera abayizi ba pulayimale  ebibuuzo ekintu ekimenya amateeka . Kati bano baweerezeddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi mu Kampala okunoonyerezebwaako.

Leave a comment

0.0/5